Amawulire

Omuwala agambibwa okubba omwana omuwala ow'emyezi ena okuva ku nnyina, akwatiddwa poliisi.

Catherine Nalubega 19, omutuuze ku kyalo Kiwala - Kyeyagalire mu muluka gw'e Nkandwa mu ggombolola y'e Nkandwa mu disitulikiti y'e Kiboga, y'akuumirwa ku poliisi eyo nga bamulumiriza okubba omwana Anita Kemigisha.

Omuwala agambibwa okubba omwana omuwala ow'emyezi ena okuva ku nnyina, akwatiddwa poliisi.
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuwala agambibwa okubba omwana omuwala ow'emyezi ena okuva ku nnyina, akwatiddwa poliisi.

Catherine Nalubega 19, omutuuze ku kyalo Kiwala - Kyeyagalire mu muluka gw'e Nkandwa mu ggombolola y'e Nkandwa mu disitulikiti y'e Kiboga, y'akuumirwa ku poliisi eyo nga bamulumiriza okubba omwana Anita Kemigisha.

Bbebi eyabadde abbiddwa poliisi

Bbebi eyabadde abbiddwa poliisi

Obubbi buno, bwabaddewo ku Lwomukaaga, nnyina w'omwana ono ali mu kibiina  kya 'Altezza Charity Group', bwe babadde bali mu kugabira abatalina mwasirizi ebirabo by'ennaku enkulu.

Babadde ku kyalo Kyeyagalire, nti maama n'akwasa Delphine Ndagire omwana we era nga kigambibwa nti Nalubega kwe kulimba Ndagire, omwana n'amumuggyako n'abulawo naye.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lamerk Kigozi, asiimye bannaddiini ku kigo ky'e Nkandwa nga bakulembeddwa Brother Andrew Lulangwa,   abaasobodde okukwata omuwala ono Nalubega n'omwana, ne bamukwasa poliisi ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Kigozi agasseeko nti omwana , bamuddizza bakadde be ng'ali mu mbeera nnungi.

Tags:
Kubba
Mwana
Nnyin
Nnyina
Poliisi
Bubbi