ABEESIMBYEWO ku tiketi ya NRM e Makindye bawandiikidde akakiiko k’ebyokulonda nga beemulugunya ku butafuna kwanukulwa ku kusaba kwe baakola okuwanduukulula abantu mwenda abavuganya ku kifo kya mmeeya wa Makindye diviizoni.
Ebbaluwa eyawandiikiddwa Yasin Omar naye avuganya ku kifo kye kimu yasabye ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama abawe ensala ye ku kwemulugunya kwe baateekayo mu September.

Yasin Omar omu ku baawandiikira akakiiko
Omar ne banna NRM abalala baawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga beemulugunya nti David Sabuka Tigatoola, Joe Jjuuko Nakibinge, Ismael Tabalamule Kamale, Malcom James Ssewanyana, Philip Nyika, Sumayiya Nabadda, Juma Kayima, Geoffrey Ssemata Edu, ne Haruna Ssebaggala tebaaweza mikono 20 gyetaagisa kuwandiisibwa kuvuganya ku kifo kino.
Okwemulugunya era kulaga nti bano emikono egimu gye baakozesa mu kakiiko k’ebyokulonda, abantu abamu baali baamala dda okuweebwayo Omar ekintu ekitakkirzibwa mu mateeka ga byakulonda.
Omar ne banne baategeeza nti diviizoni ya Makindye erina emiruka 25 nga mu buli muluka, abeesimbyewo baalina okufuna emikono 20 okuva mu buli muluka wabula bano emikono tebaagiweza nga n’emiruka egimu egyakutulwamu ne gisigala ng’amannya gafaanagana emikono baagigatta.
Mu bbaluwa gye baawandiise nga December 19, baasabye okwanukulwa oba sikyo, ensonga bazitwale mu kkooti y’abantu babalamule.