Amawulire

Abantu basabiddwa okuba obulindaala mu nnaku enkulu

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba, ayongedde okusaba abantu okubeera obulindaala, nga bali mu bikujjuko by'ennaku enkulu , okwewala ebikolwa ebikyamu.

Abantu basabiddwa okuba obulindaala mu nnaku enkulu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba, ayongedde okusaba abantu okubeera obulindaala, nga bali mu bikujjuko by'ennaku enkulu , okwewala ebikolwa ebikyamu.

Agambye nti bo ng'abakuumaddembe, beetegefu okukuuma Bannayuganda n'ebyabwe, era n'abasaba okukolagana obulungi n'ebitongole ebikuumaddembe , bwe babaako , kye beekengedde.

Abasabye okwongera okukuuma emirembe mu kiseera kino ekya kkampeyini n'ekiseera ky'okulonda nga kituuse nga January 15 omwaka ogujja.

Abalabudde okwewala okusoomooza n'okwenyigira mu bikolwa eby'efujjo, ebiyinza okuvaamu okuyiwa omusaayi n'obutabanguko.

Tags:
Amawulire
Ggwanga
Abas Byakagaba
Bikolwa
Ffujjo
Bikyamu