AFCON 2025 – MOROCCO
Uganda – Tunisia (December 23)
Uganda – Tanzania (December 27)
Uganda – Nigeria (December 30)
NG’ESIGADDE ennaku 5 zokka empaka z’ekikopo kya Africa (Africa Cup of Nations) okuggyibwako akawuuwo mu kibuga Marakesh ekya Morocco, FUFA ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga kitongozza omujjoozi abawagizi gwe bagenda okwambala nga bawagira Uganda ng’akabonero akalaga obumu.
Omujjoozi guno gwatongozeddwa ku wiikendi ku kitebe ky’abavujjirizi ba Uganda Cranes, aba Nile Special e Luzira. Gwakoleddwa mu ndabika ey’Ekifirika, nga kampeyini eno ya buli munnayuganda okufuna omujjoozi guno, buli omu agwambale nga Cranes ezannya e Morocco.
Okusinziira ku Ian Kiryowa okuva mu FUFA agamba nti omujjoozi guno gwayiiyiziddwa obwongo obw’enjawulo okuli; aba Nile Special, Multi Choice abagenda okulaga AFCON ne MTN MOMO, kampeyini yatuumiddwa ‘Omuwagizi y’asooka, nnamba emu” n’ekigendererwa ky’okulaga obumu ne Cranes.
Colin Asiimwe kitunzi wa multi-choice yakoowodde abawagizi bonna okweyunira omujjoozi guno, guteereddwaako nnamba 12, ekitegeeza nti omuwagizi ye muzannyi ow’e 12 mu mupiira. “Tugenda kusaasaanya emijjoozi gino buli wamu okwetoloola eggwanga okusobozesa buli muwagizi okugufuna, ffena leka twambale Uganda Cranes,” Asiimwe bwe yategeezezza.
Uganda eri mu kibinja C mw’egenda okuvuganyiza ne Tanzania, Tunisia ne Nigeria. Cranes eggulawo na Tunisia ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, e Morocco