Ekibiina ekifuga omuzannyo gwa chess mu Africa ekya African Chess Confederation (ACC) kiwadde Uganda olukusa okutegeka empaka ezomulundi ogwe 17 eza African Youth Chess Championships (AYCC), ezomwaka ogujja.
Bino byalangiriddwa president wa ACC Tshepiso Lopang mu lukungaana olwatudde nga empaka zabamusaayimuto zaakaggwa mu kibuga Hrare ekya Zimbabwe. Ekiteeso kyokuwa Uganda okugeteka kyasembeddwa olukiiko olufuzi nabakiise abaabadde mu lukungaana luno.
President wa ACC Tshepiso Lopang mukakafu nti Uganda egenda kutegeka empaka ezomutindo olwengeri gyezze etegekamu empaka ezizze zigyiweebwa. “ nina esannyu olwa Uganda okutegeka empaka zomwaka ogujja, baali bategeseeko era ndi mumamtivu nti nazino bajja kuzitegeka bulungi” Tshepiso bweyagambye.

Mwaka ku ddyo ne Ojok ku kkono nga banyumya ne president wa chess mu Africa Tshepiso (wakati)
Wabula yawabudde Uganda okutandika okwetegeka nga obudde bukyali nga batandikira mukuwandiisa nokuwa amateeka aganaagobererwa kisobole okuwa amawanga aganakiika omwaganya okwetegeka obulungi.
Mu lukungaana luno Uganda yakiikiriddwa president womuzannyo gwa chess mu Uganda Emanuel Mwaka nga ali wamu nomuwandiisi wekibiina Patrick Ojok eyakulemeberamu ekibinja kya Uganda mu Zimbabawe.
Mwaka yayogedde ku kya Uganda okutegeka nga omukisa ogwamaanyi oguweereddwa eggwanga okulaga amaanyi gaalyo mu muzannyo gwa chess. “ guno gwemulundi gwaffe ogugenda okusooka okutegeka empaka eziri ku daala bweriti era tweyama okutegeka empaka ezikyasinze” Mwaka bweyagambye.

Mwaka ne Ojok mu lukungaana
Ssaabawandiisi wekibiina kya UCF Ojok yategezezza nti Uganda neetegefu okukyaza empaka zino olwamaanyi gebataddemu mu kutumbuula ebitone byabavubuka. “okuleta empaka zino mu Uganda kyakuwa abavubuka baffe abawera omukisa okuzannyanga ku mutendera guno kuba bangi tebafuna mukisa guno olwensimbi enyingi eziba zetaagisa okubatikka” Ojok bweyagambye.
Olwebitone ebiwerako Uganda byerina, okutegeka empaka zino kwakuwa bamusaayimuto ba Uganda abawerako okunoonyeza Uganda emidaali nokufuna obubonero kiyite rankings mu muzanyo gwa chess. Mu mpaka ezaakakomekkerezezwa e Zimbabwe Uganda yamalidde mu kifo kyakusatu nga yawangudde emidaali 6 ku bamusaayimuto 18 beyatwala okwetabamu