OMUNIGERIA Ramsey Noah eng'ombo eya ‘Uganda esinga America’ yagitegeera.
Ono kafulu mu kuzannya ffirimu za Ebinigeria era mutaka mu ggwanga.
Mu mwaka gumu emabega, yali wano ne Paw Paw era abawala baamwetega okuva ku ekisaawe e Ntebe ne ku wooteeri we yasula ne bassaawo obukuumi obw’amaanyi.
Ekimuleese ku luno, kwe kuzannyamu ffirimu n’abazannyi ba wano, alambule ne ku Uganda ekkula lya Afirika kw'ossa okwetaba ku mikolo gy’okugaba engule mu ffirimu egya Ikon Awards.