NG’ESIGADDE ennaku ssatu zokka empaka zaakafubutuko eza ‘FMU Boxing Day sprint Championship’, eziggalawo kalenda y’emmotoka omwaka guno okubaawo e Busiika, omu ku bavuzi Oscar Ntambi ayingizzaawo kapyata w’emmotoka ekika kya Mitshubish Evolution 10, n’alabula abagenda okumuvuganya
Mmotoka eno yatuuse mu ggwanga wiiki ewedde era n’agisabuukulira abawagizi bannamawulire wamu n’abavujjirizi ku mukolo gw’okutongoza ez’e Busiika ogwabadde ku kisaawe kya Extreme Adventure Park e Busiika ku wiikendi.

Oscar Ntambi ng'aga ekyuma kye kyeyaleese ekipya
Ntambi nga ye kyampiyoni w’engule y’emmotoka ezisikira ku mipiira ebiri (2WD) 2022, okuva lwe yalinnyisa eddaala okwesogga omutendera gwa bakafulu ogwa NRC mu 2023, mmotoka gy’abadde avuga ekika kya Subaru Impreza N10, emukaabizza amaziga, ebadde efa mu buli mpaka era talina kalenda gye yali amazeeko.
“Neevuddemu obukadde obusukka mu 200, okufuna mmotoka empya, eri ebadde ejja kundiisa empologoma eyo mu nsiiko gy’efiira wakati mu mpaka, kati ng’enda kuliisa enfuufu eb’e Busiika, njagala etandike na kuwangula,” Ntambi bwe yategeezezza.
Ez’e Busiika zaakuyiriba ku Lwokutaano luno, abavuzi abasukka mu 30 be baakakasa okwetabamu wabula okwewandiisa kuggalawo ku Lwokusatu. Ng’emmotoka tezinnayiriba, wajja kusookawo ddigi z’empaka nga zibuuka ebifunvu