Kasalabecca

Wadde omuggalo gwa Covid-19 gunyize abayimbi, Twaha Masanga tannaggwaamu maanyi

Wadde ekirwadde kya Covid 19 kikyagenda mu maaso n’okukunya abayimbi olw’omuggalo, ye musajjamukulu Twaha Sulaiman Masanga tannaba kuggwaamu maanyi.

Wadde omuggalo gwa Covid-19 gunyize abayimbi, Twaha Masanga tannaggwaamu maanyi
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

Ku mulimu gw’okuwandiika ebitabo affissaawo akadde n’ayiiya ennyimba era w’osomera bino ng’aleeseyo olupya oluyitibwa ‘‘Togaya mirimu’’.

Masanga agamba nti oluyimba luno lukubiriza abantu okukola ennyo n’obutagaya mirimu bwe baba baagala okuwangula n’okuba obulungi.

Yategeezezza nti ensi we yatuuka, oba osomye oba tosome kola omulimu gw’ofunye kasita baba nga bakusasula n’osobola okufuna ssente ezikubeezaawo n’abantu bo.

Mu luyimba luno ajjukiza abantu nti ensibuko y’obwavu kulera ngalo ate n’abajjukiza nti ne mu Bayibuli bagamba nti mu ntuuyo zo mwonojja eky’okulya. Kyokka agamba nti omulimu gw’okola bw’olaba nga tegukuwa mirembe n’okukuyamba gute ofune omulala.

Masanga alina ennyimba endala nga: Topapira mukwano, Olunaku Mulindwa, Nviira ku musajja, Namugema, Jukira Katonda, Entununsi z’omukwano n’endala.

Oluyimba luno yalukwatidde mu MK Studios era pulodyusa Tila ye yalukozeeko.